Byabakama Atabukidde Abasirikale Abakuba Abantu e Kawempe, Ayagala Ategeke Akalulu Ak’amazima

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga Omulamuzi Simon Byabakama akakasizza ng’akakiiko katwala bwekatalina kyekamanyi ku kabinja k’Abasirikale aka JAT akaliisa abamu ku bavuganya ne bannamawulire akakanja mu kalulu ke Kawempe Wabula Byabakama avumiridde nnyo n’ebigambo ebisiga obukyayi mu bantu ebikozesebwa abamu ku bavuganya mu kalulu k’e Kawempe nasaba ababikozesa okubyewala. Bino abyogedde asisinkanye Abasunsuzi b’amawulire abeegattira mu kibiina ki Uganda Editors’ Guild ku Mestil Hotel e Nsambya.


https://www.youtube.com/watch?v=mgF0ofC2H14

LEAVE A COMMENT