Byabakama Asunsuddwa, Ssebunnya ne Etunu Basuuliddwa
- ByAdmin --
- Jan 17, 2024 --
Akulira akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama Mugyenyi n’omumyuka we Hajjat Aisha Lubega wamu n’abamu ku baalondebwa okukulemberamu akakiiko k’ebyokulonda basunsuddwa akakiiko akekennenya abantu Pulezidenti b’alonda okutandika emirimu gyabwe mu kisanja eky’emyaka omusanvu. Eyaliko omubaka we Nansana munnaNRM lukulwe Robert Kasule Ssebunnya ne munnaNRM Pamera Etunu Okudi tebasunsuddwa ng’olukalala olubaddeko ba kaminsona lugenze okutuusibwa mu Palamenti ng’ebifo byabwe byaweereddwa dda abantu abalala.