Burora Alabudde Ab’oludda Oluvuganya

Omubaka wa Pulezidenti e Rubaga Herbert Anderson Bulora alabudde ab’oludda oluvuganya abateeseteese okwekalakaasa olunaku lw’enkya nga beesigama kwebyo ebitagenda bulungi mu ggwanga naddala mu kibuga kampala okuli embeera y’enguudo n’okutyoboola edembe ly’obuntu okususse mu ggwanga. Burora agamba nti bannabyabufuzi bano balina olukwesikwesi lw’okutabangula olukung’aana lwa NAM olugenda mu maaso e Munyonyo n’emirembe egyaleetebwa gavumenti ya NRM. Bino abyogeredde ku Ssengejjero ly’amawulire mu kampala bwabadde ayogerako eri bannamawulire.


LEAVE A COMMENT