Buganda Esimbye Ekkuuli ku Mmwanyi , Minisita Kakomo Asabye Abantu Obutaggwamu Maanyi
- ByAdmin --
- Oct 31, 2024 --
Bannayuganda basabiddwa obutaggwamu maanyi mu kulima ekirime ky’Emmwanyi wadde gavumenti eyagala okuggyawo ekitongole ki Uganda Coffee Development Authority UCDA. Minisita avunaanyizibwa ku by’obulimi mu Buganda Owek. Hajji Amis Kakomo atubuulidde nti waliwo bingi ebituukiddwako mu nteekateeka y’Obwakabaka eya #Mwanyi Terimba nga bali wamu n’ekitongole ki UCDA. Ono agamba gavumenti yandibadde ekitongole kino eky’ongera n’ensimbi okugenda maaso nga kibangula abalimi b’Emmwanyi.