Bp. Banja Awadde Obubaka bwe Obw’amazuukira eri Bannayuganda , Atangaazizza ku Nsonga ya Hon. Mpuuga
- ByAdmin --
- Mar 28, 2024 --
Omulabirizi we Namirembe Moses Banja avumiridde obuli bw’enguzi obukyase ennyo mu ggwanga bwagamba nti bulemesezza enkulaakulana. Omulabirizi Banja abadde awa obubaka bwe obw’amazuukira ga Kulisito n’asaba gavumenti ekole ekisoboka okulaba ng’enguzi etuulibwa ku nfeete bannansi basobole okutuusibwako obuweereza bwebeetaga.