
Bishop Zziwa Awabudde Abazadde ku Nkuza y’Abaana
- ByAdmin --
- Feb 03, 2025 --
Omusumba w’essaza lya Kiyinda - Mityana era nga ye Ssentebe w’olukiiko lw’Abeepisikoopi mu gwanga, Dr. Anthony Zziwa alaze obutali bumativu eri abazadde aboolesa emitima egy’ekko ku baana babwe. Omusumba Zziwa okwogera bino asinzidde ku kigo kya Saint Felicitas mu Dinary ye Kiboga ng’ekigo kino kijaguza okuweza emyaka 10 bikyanga kitandikibwawo.