
Biibino Ebyafaayo By’omubaka Cecilia Ogwal
- ByAdmin --
- Jan 19, 2024 --
Eggwanga likeeredde mu kiyongobero oluvannyuma lw’okufa kwabadde omubaka omukyala owa disitulikiti ye Dokolo Cecilia Barbara Atim Ogwal . Ono afiiriddde mu ggwanga lya India gyeyaddusibwa okufuna obujanjabi bw’ekirwadde kya kkookolo ekibadde kimubala embiriizi .Cecillia Ogwal y’omu ku bakyala abaabaga Ssemateeka wa 1995 eggwanga kweritambuliza obukulembeze n’okutuuka olwaleero. Ogwal yeyaleeta ekiteeso abakyala nabo baweebwe enkizo mu bukulembeze era ekiteeso kino okukissaamu ekitiibwa kirina kubagibwa mu Ssemateeka. Abakyala abenkizo bamwogeddeko nga omuntu abadde asoma ennyo nga kumpi buli nsonga agimanyi ekintu ekitasangika sangika. Omugenzi Cecilia Ogwal abadde mubaka ateerya ntama ku nsonga ezenjawulo naddala ezo ezinyigiriza banna Uganda nga bwasituka okwogera nabadde afuluma oddawo n’otuula okuwuliriza ebigambo bye. https://www.youtube.com/watch?v=Eqy_VtT1xU8