Besigye, Kyagulanyi ne Lukwago Babagalidde Ewaka

Poliisi n’abebyokwerinda bakedde kwebungulula maka gabakulembeze ku ludda oluvuganya gavumenti okubalemesa okugenda mu maaso n’enteekakateeka yabwe ey’okusimba ebitooke mu mpompogoma z’ebinnya eziri mu makubo ng’akabonero ak’okulaga obutali bumativu bwabwe olw’embeera amakubo gyegalimu mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Bannabyabufuzi okubadde Dr. Kizza Besigye, Erias Lukwago ne Robert Kyagulanyi Ssentamu police n’amagye bakedde mu maka gabwe okubalemesa okuvaayo era emiryango egifuluma amaka gabwe gibaddeko ebimotooka bya poliisi n’amagye kwossa abasirikale ababadde abakaawu okukira omususa. https://www.youtube.com/watch?v=U0ykPcSFbG0


LEAVE A COMMENT