Besigye Ayuguumizza Kaseese, Agumizza Abantu ku Nkyukakyuka
- ByAdmin --
- Apr 08, 2024 --
Munna FDC Dr. Kizza Besigye agumizza abantu be Kasese nti ssinga bakwataganira wamu basobola okuleeta enkyukakyuka gyebaludde nga bayaayaanira. Besigye ategeezezza abantu be Kasese nti waliwo abakulu abamutuukirira akkirize bateeseganye ne gavumenti kyagamba nti kabonero akalaga nti banafuye era akadde konna basobola okubaggya mu ntebe.