
Bbanka ya I&M Ewagidde Emisinde gya Kabaka, Bazzizza Buggya Endagaano n’Obwakabaka
- ByAdmin --
- Mar 13, 2024 --
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro, Owek Robert Waggwa Nsibirwa asabye ebitongole eby’enjawulo n’abantu sekinnoomu okujjumbira emisinde gy’amazaalibwa ga Beene nga bagula emijoozi basobole okulwanyisa akawuka ka mukenenya. Owek Robert Waggwa Nsibirwa okwogera bino abadde asisinkanye aba bbanka ye I&M bwebabadde bazza obuggya omukago gwabwe n’Obwakabaka era badduukirdde enteekateeka y’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka n’obukadde obusoba mu 100