
Bannankobazambogo Batabukidde Among, Baagala Yetondere Obuganda Olw’ebigambo bye
- ByAdmin --
- Oct 28, 2024 --
Abakulembeze b’abavubuka baagala Sipiika wa Palamenti, Anita Among yetondere Obuganda olw’ebigambo byeyayogedde nga bateesa ku by’okuggyawo ekitongole ky’emmwanyi byebagamba nti bisosola mu mawanga. Bino babyogerede ku mukolo gw’okukyusa obukulembeze bw’ekibiina ki Nkobazambogo ku ttendekero li Nakawa Vocational Training Insititute e Nakawa mu Kyaddondo.