Bannamawokota Baleese Oluwalo, Beeyamye Okutambulira Awamu n’Obwakabaka
- ByAdmin --
- Aug 21, 2024 --
Amyuka sipiika w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Ahmed Lwasa akubirizza abantu ba Buganda okussa ekitiibwa n’obwesige mu bakulembeze ababatwala nga babayambako okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Bino Owek. Ahmed abyogeredde mu Bulange e Mengo bw’abadde akutikkula Oluwalo okuva mu abantu ba Beene abava e Mawokota.