Bannamateeka Baanukudde Pulezidenti Museveni, Bagamba Tasobola Kulwanyisa Nguzi nga Bwagamba
- ByAdmin --
- Jun 14, 2024 --
Omukulemeze w’eggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni ayagala akakalu ka Kkooti ku balyake kaggyibwewo nga kino agamba nti bwekikolebwa, kijjakuyambako okwewala okutaataganya obujulizi. Pulezidenti asinzidde Kololo mu kusoma embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2024/25 nga ono agamba nti wakwongera okuluma abalyake.