
Bannalulungi Balambudde Bbs Terefayina, Ssenkulu Yeeyamye Okutambula nabo Okutumbula Ebyobulambuzi
- ByAdmin --
- Jun 25, 2025 --
Akulira ekitongole kya Ssaabasajja ekya BBS Terefayina, Omuk. Eng. Patrick Ssembajjo akalaatidde bannalulungi b'ebyobulambuzi mu Buganda abaggya obutava ku misomo ky'agamba nti gigenda kubaseguliza mu biseera byabwe ebyomumaaso. Omuk. Ssembajjo okwogera bino abadde akyazizza bannalulungi bano ku BBS Terefayina enkya ya leero.