Bannakyewa Baagala Palamenti Etteeka Ly’omwenge, Ligendereddwamu Okuteeka Ekkomo ku Bagunywa

Minisita wa kabineeti, olukiiko n'emirimu egy’enkizo mu woofiisi ya Katikkiro Owek. Noah Kiyimba nga y’akiikiridde Katikkiro ategeezezza nti Obwakabaka bwakweyongera okwetegereza ebiri mu bbago erirungamya enkozesa y'omwenge eritembeetebwa Omubaka omukyala owa Tororo Sarah Opendi. Owek. Kiyimba awabudde ku ebbago lino nti nga terinnayisibwa basooke beebuuze ku Bwakabaka neberikwatako abalala kubanga omwenge gulina akakwate n’Obwakabaka. Okwogera bino abadde asisinkanye bannakyewa aba Alcohol Policy Alliance ku Mbuga enkulu ey’Obwakabaka e Mengo okukunganya ebirowoozo ebyenjawulo ebikwata ku mwenge.


https://www.youtube.com/watch?v=KDSDhtVu7-w

LEAVE A COMMENT