Bannakyaddondwa Baleese Oluwalo, Owek. Nakate Akalaatidde Abantu ba Kabaka Okunyweza Eby’enjigiriza
- ByAdmin --
- Oct 23, 2024 --
Minister w'enkulaakulana y'abantu ne woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko asabye abantu mu Buganda ne Uganda okutwalizza awamu okunyweza ebyenjigiriza by'abaana baabwe era bongere okubasomesa akabi akava mu kukozesa ebiragalalagala. Bino abyogedde bwabadde atikkula oluwalo oluleeteddwa abantu b'Omutanda okuva mu Ssaza Kyaddondo, abakiise Embuga.