
Bannakyaddondwa Baleese Amakula, Ssaabalangira Musanje Abasabye Okujjumbira Enteekateeka za Buganda
- ByAdmin --
- Jul 11, 2024 --
Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe asabye abantu ba Beene okukuuma ekitiibwa kya Buganda nga tebakoma mu bigambo wabula n’okuwagira enteekateka z’Obwakabaka. Bino Ssaabalangira abyogedde bw’abadde atikkula Bannakyaddondwa okuva mu ggombolola ya Ssaabasajja eya Mutuba V Kawempe Amakula.