Bannaddiini Bakalaatidde Abakyala Okwewala Obutabanguko mu Maka
- ByAdmin --
- Mar 04, 2024 --
Omulabirizi we Mukono, Bp. Enos Kitto Kagodo awanjagidde abakyala okukola ennyo okulwanyisa obutabanguko mu maka obukyase ennyo ensangi zino bakomyewo ekitiibwa ky’amaka mu ggwanga. Okwogera bino, abadde akulembeddemu okusaba kw’okujaguza olunaku lw’abakyala mu bbendobendo lye Mukono.