
Bannabyanfuna Basisinkanye Okukubaganya Ebirowoozo, Minisita Akalaatidde Abalimi Okutumbula Omutindo
- ByAdmin --
- May 27, 2025 --
Minisita w’ebyobulimi n’obulunzi Frank Kagiigi Tumwebaze amawanga ga Africa okuggyawo emiziziko gyonna egiremesa bannansi mu mawanga gano okusuubulagana bwebaba baagala amawanga gaabwe gakulaakulane. Bino abyogeredde Munyonyo bwabadde aggulawo olukungaana lw’omukago ogutaba abalimi ba Lumonde n’obummonde obuzungu mu Africa gu African Potato Association olw’omulundi ogw’e 13.