
Bannabugerere Bakiise Embuga, Owek. Kaawaase Abalabudde ku Bannabyabufuzi
- ByAdmin --
- May 14, 2025 --
Omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Hajji Twaha Kaawaase Kigongo asabye abantu ba Kabaka okwewala okulonda bannabyabufuzi abalengezza Obwakabaka n’abatawagira nteekateeka za Buganda n’abajjukiza nti okuwa gwowa. Bino abyogeredde ku mbuga enkulu ey’Obwakabaka Bulange e Mengo bwabadde atikkula Oluwalo okuva mu bantu ba Beene okuva mu ssaza Bugerere enkya ya leero