Bannabuddu Baleese Oluwalo, Katikkiro Abasabye Okwewala Mukenenya

Obwakabaka bwa Buganda bukubirizza abantu okwongera okwekuuma n’okulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya nga banyweza obufumbo n’okuwuliziganya obulungi mu maka. Mu bubaka Katikkiro Charles peter Mayiga bwatisse Minisita w’amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke, asabye abantu mu buganda okwongera obuyiiya n’obuvumbuzi okwetandikirako emirimu. Owekitibwa kazibwe kitooke okutuusa obubaka bwa Katikkiro abadde atikkula abantu ba Ssaabasajja Kabaka okuva mu Ssaaza Buddu Oluwalo lwebaleese Embuga.


https://youtu.be/23cmcGIOC-M?si=iAj8hjvtLvA3VGsS

LEAVE A COMMENT