Bannabuddu Baleese Amakula, Balabuddwa Okwegendereza Amawulire Amakyamu ku Bwakabaka
- ByAdmin --
- May 16, 2024 --
Abantu ba Kabaka okuva mu ggombolola ya Mutumba essatu Mukiise Mukungwe baleese Amakula ga Ssaabasajja Kabaka okusobola okuwagira entambuza y’emirimu mu mbiri za Baffe. Bano bakulembeddwamu Omwami w'eggombolola, Ahmed Kaboggoza era amakula gatikkuddwa Omukulu w’Ekikka ky’Envuma, Omutaka Kyaddondo Atanansi Kasiryembugeramula.