Banna Nkobazambogo Basisinkanye, Basabiddwa Okubeera Eky'okulabirako eri Abantu Abalala
- ByAdmin --
- Mar 08, 2024 --
Bannankobazambogo mu masomero n’Amatendekero agawaggulu, basabiddwa okubeera eky’okulabirako eri abantu bebawangaala nabo saako okufaayo ennyo ku bibasomesebwa mu bibiina. Owek. Ivan Mukasa omukiise w’Abavubuka mu lukiiko lwa Buganda bino abikalaatidde Bannankobazambogo era n’abasaba okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka. Babyogedde mu kutongoza ekibiina ki Nkobazambogo ku ssomero lya Bethel Covenant Collage e Bwebajja mu Wakiso.