
Bammeeya b’Eggombolola Banyiivu, Baagala KCCA Ebawe Obuyinza Baweereze Abantu
- ByAdmin --
- Oct 07, 2024 --
Bammeeya b’eggombolola 5 ezikola ekibuga Kampala balaze Ssenkulu wa KCCA omuggya Frank Rusa wasaana okutandikira bwaba wakuleetawo enjawulo ku buweereza bw’ekibuga. Bano bagamba nti asooke azze obuyinza ku ggombolola emirimu gitambule kubanga kyekimu ku bizingamizza entambuza y’emirimu mu kibuga Kampala.