
Bakansala Beebalamye Olukiiko lwa KCCA, Sipiika Luyirika Agamba Abamu Beezibika Ekyoja Mumiro
- ByAdmin --
- Jun 13, 2025 --
Bakansala ku Lukiiko olukulu olutwala ekibuga Kampala amaanyi n’essuubi byongedde okubaggwamu nga kino kirabikidde ku muwendo gwabwe okwongera okwesala buli lwe wabeerayo olutuula. Sipiika w'Olukiiko olutwala ekibuga Kampala Zahara Luyirika Maala agamba nti bamaze emyaka ebiri nga basaba alipoota ku ttaka lya Kampala naye tebagifuna.