
Ba Ssentebe B’eggombolola e Mpigi Sibamativu n’enkola ya Gavumenti z’Ebitundumba
- ByAdmin --
- May 08, 2024 --
Ba Ssentebe b’eggombolola ezenjawulo mu disitulikiti ye Mpigi bavudde mu mbeera nebalumba ekitebe kya disitulikiti okulaga obutali bumatiivu n’engeri entambuza y’emirimu gy’ekwatibwamu mu kitundu kyabwe . Bano bagamba nti enguudo mu kitundu kyabwe ziri mu mbeera mbi kyokka nga abatuuze babwe bawa omusolo ogutagambika ogutadda wansi kubayamba ku nsonga ezibakwatako obutereevu.