Amataba e Kasese , Abantu Abasoba mu 200 Babundabunda
- ByAdmin --
- May 06, 2024 --
Abantu abasoba mu 200 babundabunda oluvannyuma lw’amataba agaazinzeeko ebitundu bye Kasese agalesse abawerako nga tebalina wakwegeka luba nga n’abamu bafudde. Ekitongole ekidduukirize ki Uganda Red Cross kitegeezezza nti abantu be Kasese boolekedde okukwatibwa endwadde ez’enjawulo singa gavumenti tevaayo kubayamba mu bwangu. Bano baliko essomero webakungaanidde era bakyetaagira ddala obuyambi. #Gambuuze #Ageesigika #BBSKATI