
Amasaza Ataano Gakiise Embuga, Galeese Oluwalo Olutikkuddwa Owek. Noah Kiyimba
- ByAdmin --
- Jun 25, 2025 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga akuutidde Abaami ba Kabaka okuteeka abavubuka ku mwanjo mu mirimu egikolebwa era n’abavubuka naabasaba obutenyooma wabula beezuule. Mukuumaddamula era akalaatidde abantu ba Beene okulonda abantu abawuliriza Nnamulondo buli lwebeetaba mu kulonda abakulembeze. Obubaka buno Katikkiro abutisse Owek. Noah Kiyimba atikkudde Oluwalo olusobye mu bukadde 40 oluleeteddwa abantu ba Nnyinimu okuva mu Masaza ataano okuli Buddu, Ssingo, Mawogola n’amalala. Bino bibadde ku mbuga enkulu ey’Obwakabaka e Bulange - Mengo