
Amasasi ne Ttiyaggaasi Binyoose e Buikwe, Poliisi Ebadde Egumbulula Banna NUP
- ByAdmin --
- Jun 30, 2025 --
Ttiyaggaasi anyoose ku kitebe ky’Akakiiko k’ebyokulonda e Buikwe, Poliisi bwebadde egumbulula abamu ku bakulembeze ba National Unity Platform mu disitulikiti eno ababadde bakulembeddwamu Ssentebe Jimmy Kanaabi abadde atutte ekiwandiiko omubadde okwemulugunya eri akulira eby’okulonda ku disitulikiti ye Buikwe. Bano bamulumirizza okwekobaana ne NRM nebanyagulula obuwanguzi bwabwe mu kalulu k’abavubuka akaakaggwa.