
Akulira FINCA Bank mu Nsi Yonna Akalaatidde Gavumenti Okutumbula Eby’enfuna Abantu Bakulaakulane
- ByAdmin --
- May 10, 2024 --
Akulira Bbanka ya FINCA mu nsi yonna Andree Simon, asoomoozezza gavumenti olw'obutateeka nsimbi zimala naddala eri abali mu mirimu emitonotono, obutasomesa bannansi ku nkwata ya nsimbi, n'okusosowaza amasomo g'ebyensimbi mu masomero. Andree Simon akulira Finca Bank mu nsi yonna okwogera bino abadde akyaddeko mu Uganda okulaba entambuza y'emirimu nga bweri wamu n'entereka ya ssente