Akawuka ka Siriimu Kamalawo Abaana Abawala, Basusse Okwagala Abasajja Abakulu olw’Ensimbi
- ByAdmin --
- Nov 21, 2024 --
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya ki Uganda Aids Commission kigumizza Bannayuganda nti ku ddagala eritangira akawuka akaleeta mukenenya nga bwerisuubirwa okutandika okubunyisibwa mu malwaliro agasinga mu ggwanga mu March wa 2025. Akola nga Ssenkulu w’akakiiko ka Uganda Aids Commission Dr.Vicent Bagambe etegeezezza ng’eddagala lino bwerikola kwabo bokka abatanafuna kawuka bw’atyo n’asaba abantu obutamala gegatta.