Akalulu ka America ka nkya, Ekitebe kya America Kigumizza Bannayuganda ku Anaawangula
- ByAdmin --
- Nov 05, 2024 --
Olunaku lw’enkya, eggwanga lya America lwe lironda omukulembeze w’eggwanga mu butongole. Mu mboozi yaffe ey’akafubo gyetuwayizzaamu ne Ellen Masi omwogezi w’ekitebe kya America mu Uganda ku kalulu ka America atubuulidde nti amawanga ga Africa tegasaanye kuba na ssuubi ddene mu Donald Trump oba Kamala Harris kuba enkola ya America omukulembeze takola byayagala okuggyako nga biyise mu mitendera egiwerako kuba bangi abasalirawo eggwanga. Ellen era egamba Trump ne Kamala bonna balina ebiruubirirwa byabwe omuli n’enteekateeka ey’okuwera enkola eya kizaalaggumba wabula bino byonna byakwogerwako ng’akalulu kawedde