Akabenje Katuze Basatu e Kasese, Kavudde ku Kuvugisa Kimama
- ByAdmin --
- May 28, 2024 --
Abantu basatu bafiiridde mu kabenje akagudde enkya ya leero mu kitundu kye Makumani cell mu ggombolola ye Nyamwamba mu disitulikiti ye Kasese oluvanyuma lw’emmotoka ebadde ewenyuka obuweewo okutomera abantu ababadde batambuliraa ku booda booda. Okusinziira ku poliisi y’oku nguudo mu kitundu kye Kasese Sp. Mbusa Luka batandise okunoonyereza ku kiviiriddeko akabenje kano. Abeerabiddeko n’agaabwe nabo boogedde ebibaddewo.