
Adam Mulwana Aziikiddwa , Bannabyabufuzi Bamutenderzza
- ByAdmin --
- Feb 15, 2024 --
Bannabyabufuuzi, bannabitone, ab’enganda kwossa emikwano gy’omuyimbi Adam Mulwana beeyiye ku kyalo Buziiranduulu ekisangibwa e Luweero mu Bulemeezi okumuwerekera n’okwebaza Katonda olw’ebirungi by’asobodde okumukozesa mu bulamu bw’ensi. Adam Mulwana abakungubazi bamutenderezza olw’okulwanirira demokolasiya n’enkyukakyuka ez’emirembe mu by’obufuzi bya Uganda. #BBSGambuuze #BBSAgeesigika #BBSKATI