
Abeera Enguudo Bagobye Luyimbaazi mu Lukiiko, Bagamba Talina Kyamakulu Kyagenda Kuvaamu
- ByAdmin --
- Jun 06, 2024 --
Amyuka akulira KCCA David Luyimbaazi yeekamwanye n’aleka minisita wa Kampala mu lukiiko lwabaddemu nabeera enguudo mu Kampala oluvanyuma lw’abakozi bano okumuwerekereza ebigambo ebisongovu. Bino webiggyidde nga abeera enguudo bayingidde olunaku Olw’okubiri nga basuddewo ebikola nga bawakanya ekya KCCA okugaana okubawa omusaala gwabwe kati emyezi musanvu ekyabawalirizza okulumba ekitongole ki KCCA nga baagala banyonnyolwe lwaki tebasasulwa. #Gambuuze #Ageesigika #BBSKATI