Abeebijambiya e Nsangi Bakwatiddwa

Poliisi ye Nsangi ekutte abasajja basatu abatebeerezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateka e Buddo omwali n’okulumba amaka g’eyaliko omubaka wa Kawempe South Mubarak Munyagwa ne batema omukuumi we n’addusibwa mu ddwaliro e Mulago nga biwala ttaka. Obutemu buno bwaliwo ku ntandikwa y’omwezi guno era amaka agasoba mu 5 ku byalo okuli Kimbejja Nakasozi ne Kabinja e Buddo beebaloza ku bukambwe bw’abebijambiya bano nga ku bano.


LEAVE A COMMENT