Abe Ssingo Baleese Amakula , Basabiddwa Okukola Ennyo
- ByAdmin --
- Sep 26, 2024 --
Omulangira Daudi Chwa asabye abantu ba Buganda okukuliza abaana baabwe mu Nnono n’Obuwangwa nga babayigiriza olulimi lwabwe n’okukola bakule nga beeyagaza. Bino Omulangira abyogeredde mu Lubiri e Mengo bw’abadde atikkulirako abantu ba Beene abavudde e Ssingo Amakula ga Kabaka.