
Abe Namugongo Enfuufu Ebatta, Okuyooyoota Enguudo Kututte Ebbanga Ddene Nnyo
- ByAdmin --
- May 24, 2024 --
Abakulembeze mu bitundu bye Namugongo kumpi n’ebiggwa by’Abajulizi bawanjagidde ekitongole ki UNRA okwanguyako omulimu gw’okuddaabiriza enguudo eziri mu kitundu kino ng'Eggwanga lyetegekera okulamaga kw'Abajulizi okugenda okubeerawo nga 3 omwezi ogujja e Namugongo. Omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Wakiso Betty Ethel Naluyima agamba okulwawo kw'Okuddaabiriza enguudo zino kyanditataganya enteekateeka z'okulamaga ekiyinza okufiiriza ennyo eggwanga.