Abe Kyaggwe ne Ssingo Bakiise Embuga, Baweze Okwongera Okuwagira Enteekateeka z’Obwakabaka
- ByAdmin --
- Jun 19, 2024 --
Obwakabaka bwa Buganda butegeezezza nti tebugenda kukoowa kukolagana na bakulembeze ku mitendera egy’enjawulo naddala abassa ekitiibwa mu Buganda. Bino bibadde mu bubaka bw’Omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka ab’amasaza okuli Ssingo ne Kyagwe wano bimuli bya Bulange.