Abe Kyaddondo ne Kyaggwe Bakiise Embuga, Bakubiriziddwa Okuwagira Emirimu gy’Obwakabaka

Abantu ba Kabaka okuva mu Ssaza ly’e Kyaggwe ne Kyaddondo bakiise Embuga mu nkola ya ‘Luwalo lwaffe’ nga bali wamu n’abakulembeze bwabwe ku mitendera egy’enjawulo. Ab’e Kyaddondo bakulembeddwamu Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago era baweze okwongera okuwagira emirimu egikolebwa Obwakabaka ku mitendera egy’enjawulo. Loodimmeeya akunze bannayuganda okujjumbira okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazalibwa ga Kabaka egitegekeddwa ku mulamwa gw’okulwanyisa akawuka ka mukenenya.


https://youtu.be/0_jUsrtIphw?si=V_bSPyw9-Zg_zG06

LEAVE A COMMENT