Abe Canada Basabidde Obwakabaka, Bakubirizza Bannaabwe Okubeera Obumu

Abaganda abawangalira mu Canada wansi w’ekibiina ekibataba ekiyitibwa Bulungibwansi Canada basabidde Ssaabassajja Kabaka ne Buganda yonna olwokutuuka ku meefuga age 62. Okusabira Nnyinimu kuno kukulembeddwamu omusumba Eddie Jjumba abuuliddde ekigambo ky’olunaku nga kuteekeddwateekeddwa omusumba Peace Nakayima sso ng’omugenyi omukulu abadde omubaka wa Ssaabasajja Kabaka e Canada Owek. Esteller Muyinda nga y’akiikiridde minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki.


https://youtu.be/GqXSryk5TR0?si=OBUm0oTYw9gB3DVj

LEAVE A COMMENT