Abazadde Bakalaatiddwa Okubuulirira Abaana ku Mukenenya

Ng'omu ku kawefube ow'okukendeeza omuwendo gw'abavubuka abakwatibwa akawuka ka mukenenya ensangi zino, Omubaka omukyala owa Bukomansimbi Veronica Nanyondo ng'ali wamu n'aba Victoria Good Hope Foundation babakanye n'eddimo ly'okubuulirira abayizi abali mu masomero ku ngeri y'okwekuuma n'obutajaajamya mibiri gyabwe. Kino kiddiridde ebibalo by'ekitongole kya Uganda Aids Commission okulaga ng'ekirwadde kya Mukenenya bwekisinze okwegirisiza mu bavubuka embulakalevu.


https://www.youtube.com/watch?v=B1shxormi7o

LEAVE A COMMENT