
Abayizi Baddamu Enkya Okusoma, Ab’amasomero Basuze Bulindaala
- ByAdmin --
- Feb 03, 2025 --
Abakulembeze ba bannanyini masomero baagala minisitule y’ebyobulamu eyambeko mu nteekateeka ey’okubangula abakulembeze b’amasomero ku ngeri gyebayinza okukwatamu abayizi singa nga waliwo ekirwadde ekikambwe ekibaluseewo. Okuggulawo amasomero olunaku olw’enkya kujjidde mu kiseera ng’eggwanga liri ku bwerinde olw’obulwadde bwa MPOX ne Ebola.