
Abawagizi ba NUP Bakomyewo mu Kkooti, Kkooti Ekyagaanye Okubayimbula ku Kakalu
- ByAdmin --
- Oct 09, 2024 --
Omulamuzi wa Kkooti enkulu ewozesa emisango egyannaggomola e Wandegeya Alice Komuhangi ayongezzaayo okuwulira okweyimirirwa kwa bannakibiina kya NUP 11 ku kakalu Kkooti. Munnamateeka waabwe Luyimbazi Nalukoola asabye Kkooti eragire oludda oluwaabi mu musango guno okubawa obujulizi obugenda okukozesebwa mu musango guno.