
Abavuganya Gavumenti Bawakanyizza Akakiiko Akaateereddwawo Okulwanyisa Enguzi mu URA
- ByAdmin --
- Jul 10, 2024 --
Ababaka ba Palamenti bakubye ebituli mu kakiiko akapya omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni keyatonzeewo okulwanyisa obukenuzi mu kitongole ekiwooza ky’omusolo ki URA nga bagamba nti nebwebaayisa eky’okugatta ebitongole bya gavumenti ebikola omulimu gwegumu mu kaseera kano balaba nga abaamala obudde. Bano bagamba nti buli lukya bongera okuggwamu amaanyi ku lutalo lw’okulwanyisa enguzi kubanga buli kimu kikoleddwa naye ebiruubirirwa tebiteekebwako ssira