Abavubi Basisinkanye Abakulembeze e Wakiso ,Bakooye Okubafiiriza Ensimbi
- ByAdmin --
- Feb 29, 2024 --
Oluvanyuma lw’Abavubi b’empuuta ku mwalo gw’e Kigungu e Ntebe okwekalakaasa nga balaga obutali bumativu ku bannaabwe abavuba mukene abakyalemezza envuba embi ku Nnyanja emanyikiddwa nga mukokota. Olwaleero abatwala eby’obuvubi wamu n’abakulembeze mu Wakiso batuuzizza olukungaana n’abavubi okusalira wamu amagezi kubizibu ebisomooza abavubi kumwalo gwe Kigungu Entebe.