
Abatuuze Beekalakaasizza e Ssembabule lwa Nguudo mbi, Basimbye Ebitooke mu Kkubo
- ByAdmin --
- May 07, 2024 --
Abatuuze mu disitulikiti ye Ssembabule bakedde kwekalakaasa olw’enguudo embi eziri mu kitundu nga bagamba nti zisannyalazza emirimu gyabwe. Bano batemye ebitooke nebabasimba mu kkubo nga bagamba nti temusaana kuyitamu bidduka okujjako okusimbamu ebitooke efuuke ennimiro.