
Abatuuze Abawangaalira ku Mbalama z'Ennyanja Nnalubaale bali mu Kutya, Ennyanja Ejjudde
- ByAdmin --
- May 06, 2024 --
Abantu abawangaalira ku mbalama z’ennyanja Nnalubaale bali mukutya olw’amazzi ku Nnyanja eno okweyongera obungi nga kati gasazeeko ebitundu ebimu tebakyasobola kubituukamu. Abakugu mu mbeera y’obudde balabudde abaliraanye ennyanja okubeera abeegendereza mu kiseera kino ng’enkuba efuddemba nga gyebagoba mu Ggulu. Abakulembeze mu bitundu eby’ebulunguludde ennyanja bakitadde ku bakulu mu gavumenti abakozesa ebifo byabwe okusanyaawo obutonde ekivirriddeko bannansi okukosebwa.