Abatamiivu Bazina Guddiikudde , Palamenti Egobye Ebbago Eribadde Ligenda Okubaggya ku Mwenge
- ByAdmin --
- Aug 15, 2024 --
Palamenti egobye ebbago ly'Omwenge li Alcohol Control Bill 2024, eribadde ligendereddwaamu okubonereza abantu abanywa omwenge mu budde obw’emisana ko n’abo abanywa nebagangayira. Palamenti okusuula mu kasero ebbago lino , egamba nti bingi byeryogerako ebiri ne mumateeka amalala. Etteka lino lyayanjulwa omubaka omukyala owa disitulikiti ye Tororo Sarah Opendi.