
Abataka Bakungubagidde Omutaka Lwomwa Omukulu w'Ekika ky'Endiga
- ByAdmin --
- Mar 01, 2024 --
Olukiiko lw’Abataka abakulu ab’obusolya mu Bwakabaka lukungubagidde akulira ekika ky’Endiga Lwomwa Daniel Bbosa eyakubibwa amasasi agamuttirawo ku Ssande ya wiiki ewedde. Abataka basabye gavumenti okukuuma abantu n’okulwanyisa ettemu erikyase ennyo ensangi zino era Olukiiko lusiimye emirimu omutaka gyakoze mu kiseera kyamaze kunsi eri ekika kye eky’endiga Obwakabaka n’eggwanga okutwaliza ewamu.